Joshua 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wankaaki w'ekibuga yabadde ali kumpi okuggalwawo akawungeezi, abasajja ne bafuluma, simanyi gye baalaze. Mubawondere mangu, muyinza okubakwata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluggi lw’ekibuga bwe lwabadde lunaatera okuggalwawo akawungeezi, ne bafuluma, saategedde gye baalaze; naye mubawondere osanga munaabagwikiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda; abantu gye bazze simanyi, mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo obudde bwe bwabadde bukutte nga tebannaggalawo wankaaki wa kibuga, ne bagenda. Ssaategedde gye balaze. Naye singa mubawondera mangu, mujja kubakwata.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda: abantu gye bazze simanyi: mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.