Joshua 2:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye yali abalinnyisizza waggulu ku nyumba, ng'abakwese mu bisubi bya kitaani bye yali ayanise eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
So nno yali yabakwese dda ku nju waggulu era nga ababisseeko bulungi ebikolokomba by’obugoogwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako obuti obw'obugoogwa, bwe yali ateeseteese obulungi ku kasolya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye yali abalinnyisizza mu kasolya n'abakweka mu miti gy'obugoogwa gye yali atereezezzaayo obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako emiti egy'obugoogwa, gye yali ateeseteese obulungi ku kasolya.