Joshua 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasajja ne babawondera nga bakutte ekkubo ery'oku misomoko gya Yorudani. Abaawondera bwe baafuluma, wankaaki n'aggalwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basajja ba kabaka ne bafuluma ekibuga ne wankaaki waakyo naggalwawo. Ne banoonya abakessi okutuukira ddala ku mugga Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko, abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaabawondera bwe baamala okuva mu kibuga, wankaaki waakyo n'aggalwawo. Ne bagenda nga banoonya Abayisirayeli abakessi, okutuuka awasomokerwa Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko: abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.