Joshua 2:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Mmanyi Omukama abawadde ensi eno. Mutukubye entiisa; era bonna abali mu nsi eno batekemuse olw'okubeera mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Nkimanyi nga Mukama abawadde ensi eno era nga ffenna tubatidde nnyo, tuweddemu n’omwoyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agamba abantu nti, “Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna batekemuse ku lwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abagamba nti: “Mmanyi nga Mukama, ensi eno agibawadde. Abagirimu bonna bakwatiddwa entiisa ku lwammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agamba abantu nti Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna basaanuuka mu maaso gammwe.