Joshua 20:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Musseewo ebibuga eby'obuddukiro bye nabalagira nga mpita mu Musa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Gamba abaana ba Isirayiri bateekewo ebibuga ebyokwekwekamu nga bwe nabalagira okuyita mu Musa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti, ‘Mwerondere ebibuga eby'okuddukirangamu bye nnabagambako nga mpita mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okutegeeza Abayisirayeli nti: “Mulonde ebibuga eby'okuddukirangamu bye nalagira Musa okubategeezaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ogambe abaana ba Isiraeri nti Mweterekere ebibuga eby'okuddukirangamu, bye nnabagambako mu mukono gwa Musa: