Joshua 20:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
buli yenna asse omuntu mu butanwa nga tagenderedde gy'anaasanganga obuddukiro ku awoolera eggwanga olw'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era nti omuntu yenna atta omulala nga tagenderedde era nga takitegese addukirenga omwo, eyo gy’anaawoneranga omuwoolezi w’eggwanga ayagala okwesasuza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo anaabanga asse omuntu nga tagenderedde, anaddukiranga eyo okuwona oyo amunoonya okuwoolera eggwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omussi atta omuntu yenna nga tayagadde nga talabye alyoke abiddukirengamu: n'ebyo binaabanga ekiddukiro kyammwe eri omuwalanyi w'omusaayi.