Joshua 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'addukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, ayimiriranga ku muzigo gw'omulyango gw'ekibuga n'asooka yennyonnyolako eri abakadde b'ekibuga ekyo. Olwo balimukkiriza n'ayingira mu kibuga, ne bamuwa w'anaabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Annadukiranga mu kimu ku bibuga ebyo n’ayimirira ku mulyango gw’ekibuga annyonnyole ensonga ye eri abakadde b’ekibuga ekyo. Awo ne balyoka bamukkiriza okuyingira mu kibuga ne bamuwa ekifo eky’okubeeramu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, n'ategeeza abakadde be kibuga ekyo ensonga ze; nabo banaamutwalanga mu kibuga gyebali, ne bamuwa ekifo eky'okubeeramu, era anaasigalanga n'abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaayinzanga okuddukira mu kimu ku bibuga ebyo, n'agenda mu kifo awasalirwa emisango, ku mulyango gw'ekibuga, n'annyonnyola abakulembeze ebibaddewo. Awo banaamukkirizanga okuyingira mu kibuga, ne bamuwa ekifo aw'okubeera, n'abeera omwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaddukiranga mu kimu ku bibuga ebyo, anaayimiriranga ku muzigo gwa wankaaki ow'ekibuga, anaabuuliranga ensonga ye mu matu g'abakadde ab'ekibuga ekyo; nabo banaamutwalanga mu kibuga gye bali, banaamuwanga ekifo, alyoke ababeeremu.