Joshua 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awoolera eggwanga olw'omusaayi bw'awonderanga eyatta, tebamuwangayo mu mikono gye, kubanga teyagenderera kutta munne; tekyava mu bukyayi mu kusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oyo ayagala okwesasuza singa anaamugobereranga, tebateekwa kuwaayo oyo asse tagenderedde kubanga muliraanwa we yamutta tagenderedde, lwa kuba nti yamulinako ekiruyi n’obukyayi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anamulumbangayo, ab'omukibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye, banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo anoonya okuwoolera eggwanga bw'anaamugobererangayo, ab'omu kibuga ekyo, tebaamuwengayo mu mikono gye. Banaakuumanga eyatta, kubanga omuntu yamutta nga tagenderedde, naye nga si lwa kumukyawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'omuwalanyi w'omusaayi anaamugobereranga, tebaawengayo mussi mu mukono gwe: kubanga yakuba muntu munne nga talabye, nga tamukyawanga.