Joshua 20:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuntu eyatta, ateekwa okusigala mu kibuga ekyo okutuusa ng'awozeseddwa mu maaso g'ekibiina, n'okutuusa nga kabona omukulu eyaliwo mu budde obwo amaze okufa. Olwo eyatta omuntu alisobola okuddayo mu maka ge, mu kibuga kye kye yali adduseemu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Mu kibuga omwo mwanaabeeranga, abantu baamu banaawuliranga ensonga ye, era anaabeeranga omwo okutuusa kabona omukulu aliko mu kiseera ekyo, lw’alifa. Olwo nno aliddayo ewaabwe mu kibuga gye yadduka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo eyatta omuntu anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa nga amaze okuwozesebwa n'okusalirwa omusango mu maaso g'ekibiina ky'abantu, okutuusa nga kabona asinga obukulu aliwo mu biseera ebyo amaze okufa; Olwo omussi oyo n'alyoka addayo mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, gye yava okudduka.’ ”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyatta omuntu anaasigalanga mu kibuga omwo okutuusa ng'amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina ky'abantu, era okutuusa nga Ssaabakabona abeerawo mu nnaku ezo amaze okufa. Olwo omuntu oyo n'addayo eka mu kibuga ky'ewaabwe gye yadduka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye anaabeeranga mu kibuga omwo, okutuusa lw'anaayimiriranga mu maaso g'ekibiina okusalirwa omusango, okutuusa kabona asinga obukulu anaabeerangawo mu nnaku ezo lw'alifa: omussi n'alyoka addayo n'ajja mu kibuga kye, ne mu nnyumba ye, mu kibuga mwe yava okudduka.