Joshua 20:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kwe kwawula ebibuga: Kedesi mu Galilaaya, mu nsozi za Nafutali, Sekemu, mu nsozi za Efurayimu, ne Kiriyati-Aruba, oba Keburoni, mu nsozi za Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne baawulako ebibuga bino: Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey’ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba, ye Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bino by'ebibuga bye balonda okuddukirangamu: Kedesi eky'omu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba ye Kebbulooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku ludda olw'ebugwanjuba olw'Omugga Yorudaani, ne balonda Kedesi eky'omu Galilaaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, ne Heburooni mu nsi ey'ensozi eya Yuda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne batereka Kedesi mu Ggaliraaya mu nsi ey'ensozi eya Nafutaali, ne Sekemu mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni) mu nsi ey'ensozi eya Yuda.