Joshua 20:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bino bye bibuga ebyayawulirwa Abayisirayeli bonna, n'abagwira abaalinga mu bo, buli yabanga asse omuntu mu butanwa mwe yaddukiranga asobole okuwona awoolera eggwanga olw'omusaayi, okutuusa ng'amaze okuwozesebwa ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo bye bibuga ebyateekebwawo abaana ba Isirayiri bonna era ne bannaggwanga abaali mu bo nti omuntu yenna eyattanga omuntu nga tagenderedde addukire eyo aleme kuttibwa omuwoolezi w’eggwanga okutuusa lw’aliyimirira mu maaso g’ekibiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo bye bibuga ebyalondebwa abaana ba Isiraeri okuba eby'okuddukirangamu. Omuntu yenna oba mu Isiraeri oba munnaggwanga anattanga omuntu nga tagenderedde addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo awooleera eggwanga, okutuusa nga amaze okuwozesebwa mu maaso g'ekibiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye byali ebibuga eby'okuddukirangamu, ebyalondebwa Abayisirayeli bonna na buli mugwira abeera mu bo, buli attanga omuntu nga tagenderedde, addukirenga omwo, aleme okuttibwa oyo amunoonya okuwoolera eggwanga, okutuusa ng'amaze okuwoleza mu maaso g'ekibiina ky'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo bye bibuga ebyalagirirwa abaana ba Isiraeri bonna, ne munnaggwanga abalimu, buli attanga omuntu yenna nga talabye addukire omwo, aleme okuttibwa n'omukono gw'omuwalanyi w'omusaayi, okutuusa lw'aliyimirira mu maaso g'ekibiina.