Joshua 21:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo abakulu b'omu masiga g'Abaleevi ne bajja eri Eleyazari kabona, Yoswa mutabani wa Nuunu n'eri abakulu b'amasiga mu bika byonna eby'Abayisirayeli,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abakulira ennyumba mu kika ky’Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n’eri Yoswa mutabani wa Nuuni n’eri abakulu b’ennyumba z’abaana ba Isirayiri
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuuni n'eri abakulu b'ennyumba za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo abakulu b'ennyumba ez'ab'omu Kika kya Leevi, ne bagenda eri Eleyazaari kabona, n'eri Yoswa mutabani wa Nuuni, n'eri abakulu b'ennyumba z'ab'omu bika byonna ebya Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'Abaleevi ne bajja eri Eriyazaali kabona n'eri Yoswa omwana wa Nuni n'eri emitwe (egy'ennyumba) za bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri: