Joshua 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti bazzukulu ba Aroni mu ssiga lya Kewati ery'abazzukulu ba Leevi, akalulu be kaasooka okwokya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bye byaweebwa abaana ba Alooni mu nnyumba z’Abakokasi mu kika ky’Abaleevi kubanga akalulu be kasooka okugwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne biba by'abaana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi; kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bazzukulu ba Arooni, ab'ennyumba ya Kohati ow'omu Kika kya Leevi. Be baasooka okukubirwa akalulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne biba bya baana ba Alooni, ab'enda ez'Abakokasi, ab'omu baana ba Leevi: kubanga omugabo gwabwe gwe gwasooka.