Joshua 21:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
baabawa Kiriyati-Aruba oba Keburoni, mu nsozi za Yuda, ko n'amalundiro agakyetoolodde. Aruba ye yali kitaawe wa Anaki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne babawa Kiriasualuba (Aluba ye yali kitaawe wa Anaki) era ekimanyiddwa nga Kebbulooni mu nsi ey’ensozi eya Yuda n’ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne babawa Kiriyati Aruba (Aruba ye yali kitaawe wa Anaki), kati ekiyitibwa Heburooni, mu nsi ey'ensozi eya Yuda, awamu n'ettale lyakwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne babawa Kiriasualuba, (Aluba oyo yali) kitaawe wa Anaki, (ye Kebbulooni), mu nsi ey'ensozi eya Yuda, n'ebyalo byakyo ebikyetoolodde.