Joshua 21:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lyo ettale n'ebyalo ebyetoolodde ekibuga baali babiwadde Kalebu, mutabani wa Yefunne ng'obusika bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ennimiro zaakyo n’ebibuga byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune abitwale ng’omugabo gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okuba obusika bwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ennimiro z'ekibuga ekyo n'ebyalo byakyo byali byaweebwa dda Kalebu, mutabani wa Yefunne okuba ebibye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ennimiro z'ekibuga n'ebyalo byakyo ne babiwa Kalebu omwana wa Yefune okubirya.