Joshua 21:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bawa abazzukulu ba Aroni bakabona Keburoni n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, era ne Libuna ko n'amalundiro gaakyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu abaava mu Alooni eyali kabona ne baweebwa Kebbulooni, ebibuga ebyokwekwekamu abo ababa basse bantu bannaabwe, n’amalundiro gaabyo ne Libuna n’amalundiro gaakyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bawa abaana ba Alooni kabona, Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwongereza ku Heburooni, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu, bino bye bibuga ebyaweebwa bazzukulu ba Arooni kabona: Libuna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawa abaana ba Alooni kabona Kebbulooni n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Libuna n'ebyalo byakyo ebiriraanye;