Joshua 21:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'essiga lya Kewati abaafikkawo, ab'omu masiga g'Abaleevi, baaweebwa ebibuga bino okuva mu kika kya Efurayimu:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eri Abakokasi abalala abaali bava mu nnyumba z’Abakokasi ez’Abaleevi ebibuga ebyabaweebwa byava mu kika kya Efulayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Kohati ne baweebwa mu kalulu ebibuga, mu kitundu kya Efurayimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'enda ez'abaana ba Kokasi, Abaleevi, be baana ba Kokasi abalala, ne balya ebibuga eby'akalulu kaabwe mu kika kya Efulayimu.