Joshua 21:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga bino byonna ekkumi n'amalundiro gaabyo byaweebwa ab'essiga lya Kewati mu mayumba gaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga byonna eby’ennyumba z’abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n’amalundiro gaabyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi (10) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga byonna ab'ennyumba ya Kohati abalala bye baafuna byali kkumi, wamu n'ettale lyabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibuga byonna eby'enda ez'abaana ba Kokasi abalala byali kkumi n'ebyalo byabyo ebiriraanye.