Joshua 21:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ab'essiga lya Gerusoni, okuva mu masiga g'Abaleevi, baafuna mu kyokubiri eky'ekika kya Manasse ebibuga: Golani n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, eky'omu Basani, ne Be-Esutera n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’eri abaana ba Gerusoni ekimu ku kika ky’Abaleevi, ekitundu eky’ekika kya Manase, Golani mu Basani n’amalundiro gaakyo, ekibuga eky’okwekwekangamu oyo asse nga tagenderedde, ne Beesutera n’amalundiro gaakyo, ebibuga bibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
(Ne bawa) abaana ba Gerusoni, ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bibiri (2).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi abalala ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa mu kitundu kya Manasse ebibuga bibiri: Goloni ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Basani, ne Beesutera, wamu n'ettale lyabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Ne bawa) abaana ba Gerusoni; ab'enda ez'Abaleevi, mu kitundu eky'ekika kya Manase Golani mu Basani n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi; ne Beesutera n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bibiri.