Joshua 21:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu kika kya Nafutali baafuna: Kedesi n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eky'omu Galilaaya, Kammoti-Dori n'amalundiro gaakyo, ne Karutani n'amalundiro gaakyo; bye bibuga bisatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu kika kya Nafutaali, Kadesi mu Ggaliraaya n’amalundiro gaakyo, ebibuga ebyokwekwekamu, ne Kammasudoli n’amalundiro gaakyo, ne Kalutani n’amalundiro gaakyo, bye bibuga bisatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebikiriraanye; ebibuga bisatu (3).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baweebwa ebibuga bisatu mu kitundu kya Nafutaali: Kedesi, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Galilaaya, ne Hammoti Doori, ne Karutaani, wamu n'ettale lyabyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu kika kya Nafutaali, Kedesi mu Ggaliraaya n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Kammasudoli n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ne Kalutani, n'ebyalo byakyo ebiriraanye; ebibuga bisatu.