Joshua 21:38 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuva mu kika kya Gaadi baafuna ebibuga: Ramoti n'amalundiro gaakyo, ekibuga eky'obuddukiro eri abeera asse omuntu, eky'omu Gileyaadi, Makanayimu n'amalundiro gaakyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaali n’amalundiro gaakyo, ekibuga ekyokwekwekamu oyo asse, ne Makanayimu n’amalundiro gaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebikiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebikiriraanye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baweebwa ebibuga bina mu kitundu kya Gaadi: Ramoti, ekimu ku bibuga eby'okuddukirangamu eky'omu Gileyaadi, ne Mahanayimu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu kika kya Gaadi, Lamosi mu Gireyaadi n'ebyalo byakyo ebiriraanye, ekibuga eky'okuddukirangamu omussi, ne Makanayimu n'ebyalo byakyo ebiriraanye;