Joshua 21:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akalulu akasooka kaayokya essiga lya Kewati mu nnyumba zaabwe. Abaleevi abasibuka mu Aroni kabona baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika ekya Yuda, ekya Simewoni n'ekya Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akalulu ne kagwa ku nda ez’Abakokasi. Bwe batyo Abaleevi abaali bava mu Alooni kabona ne bafuna ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi, n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu (13).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi ab'ennyumba ya Kohati be baasooka okuweebwa ebibuga mu kalulu. Abasibuka mu Arooni kabona, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yuda n'ekya Simyoni n'ekya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akalulu ne kavaamu enda ez'Abakokasi: n'abaana ba Alooni kabona, abaali ab'ekika ky'Abaleevi, ne baweebwa akalulu mu kika kya Yuda, ne mu kika eky'Abasimyoni, ne mu kika kya Benyamini, ebibuga kkumi na bisatu.