Joshua 21:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga byonna ebyaweebwa ab'essiga lya Merari, be Baleevi mu masiga gaabwe abaali basigalidde, biwera kkumi na bibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo byonna byali by’abaana ba Merali be Baleevi, abaali basigalidde ng’ennyumba zaabwe bwe zaali, bye bibuga kkumi na bibiri byonna awamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byonna byali bibuga by'abaana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe batyo ab'ennyumba ya Merari bonna awamu, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebyo byonna byali bibuga bya baana ba Merali ng'enda zaabwe bwe zaali, ze nda endala ez'Abaleevi; n'akalulu kaabwe kaali ebibuga kkumi na bibiri.