Joshua 21:41 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga by'Abaleevi byonna wamu ebyali mu bitundu by'Abayisirayeli, byawerera ddala amakumi ana mu munaana, ko n'amalundiro gaabyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga byonna ebyali ku ttaka ery’abaana ba Isirayiri byali amakumi ana mu munaana awamu n’ebyalo byabyo ebibiriraanye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga ana mu munaana (48) n'ebyalo byabyo ebibiriraanye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bitundu byonna Abayisirayeli bye baafuna okuba ebyabwe, Abaleevi baaweebwamu ebibuga amakumi ana mu munaana, wamu n'ettale lyabyo eribyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibuga byonna eby'Abaleevi (ebyali) wakati mu butaka obw'abaana ba Isiraeri byali ebibuga amakumi ana mu munaana n'ebyalo byabyo ebiriraanye.