Joshua 21:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atyo Omukama n'awa Yisirayeli ensi yonna gye yali alayidde okuwa bajjajjaabwe; ne bagitwala ne babeera omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Mukama n’awa Isirayiri ettaka lyonna nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, era bwe baamala okulifuna ne babeera omwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'atyo Mukama bwe yawa Abayisirayeli ensi yonna, gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe. Ne bagyefuga, ne bagibeeramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama bwe yawa bw'atyo Abaisiraeri ensi yonna gye yalayirira okuwa bajjajjaabwe; ne bagirya, ne bagibeeramu: