Joshua 21:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yabawa obuweerero ku njuyi zonna, nga bwe yali alayiridde bajjajjaabwe; tewali mulabe n'omu yabagumira; bonna abalabe baabwe yababawa mu mikono gyabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’abawa emirembe ne bawummula ku buli luuyi nga bwe yalayirira bajjajjaabwe, tewali mulabe waabwe n’omu gwe bataawangula kubanga Mukama yali agabudde abalabe baabwe mu mukono gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe; so tewali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abawa emirembe ku nsalo zaabwe zonna, nga bwe yasuubiza bajjajjaabwe. Tewali n'omu ku balabe baabwe bonna eyasobola okuyimirira mu maaso gaabwe, kubanga Mukama yawa Abayisirayeli okuwangula abalabe baabwe bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'abawummuza enjuyi zonna, nga byonna bye yalayirira bajjajjaabwe: so tewaali muntu mu balabe baabwe bonna eyayimirira mu maaso gaabwe; Mukama yawaayo abalabe baabwe bonna mu mukono gwabwe.