Joshua 21:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasigadde ab'essiga lya Kewati akalulu kaabawa ebibuga kkumi okuva mu bika ekya Efurayimu, ekya Daani, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakokasi abaali basigaddewo ne bafuna ebibuga kkumi okuva mu nnyumba, z’ebika bya Efulayimu, ne Ddaani n’ekitundu ky’ekika kya Manase.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi (10).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abakohati abalala ne baweebwa ebibuga kkumi okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Efurayimu n'ekya Daani n'ekya Manasse.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Kokasi abalala ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Efulayimu, ne mu kika kya Ddaani, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase, ebibuga kkumi.