Joshua 21:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'essiga lya Gerusoni akalulu kaabawa ebibuga kkumi ba bisatu okuva mu kika ekya Yissakari, ekya Aseeri, ekya Nafutali, n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse mu Basani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’abaana ba Gerusoni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu nnyumba zino: eya Isakaali, n’eya Aseri, n’eya Nafutaali, n’ekitundu ky’ekika kya Manase mu Basani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani, ebibuga kkumi na bisatu (13).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ennyumba ya Gerusooni ne baweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva mu bitundu eby'ab'Ebika: ekya Yissakaari n'ekya Aseri n'ekya Nafutaali n'ekya Manasse mu Basani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Gerusoni ne baweebwa akalulu mu nda ez'ekika kya Isakaali, ne mu kika kya Aseri, ne mu kika kya Nafutaali, ne mu kitundu eky'ekika kya Manase mu Basani; ebibuga kkumi na bisatu.