Joshua 21:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga bino ko n'amalundiro gaabyo, Abayisirayeli bye baawa Abaleevi ku kalulu ng'Omukama bwe yali alagidde ng'ayita mu Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga bino, n’amalundiro gaabwe nga Mukama bwe yali alagidde okuyita mu Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baakuba bululu okuwa Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyakwo, nga Mukama bwe yalagira ng'ayita mu Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Isiraeri ne babawa n'obululu Abaleevi ebibuga ebyo n'ettale lyabyo, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa.