Joshua 22:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka e Geliloti, mu Kanaani, okumpi ne Yorudani, bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ne bazimba okumpi ne Yorudani omwaliiro omugulumivu mu ndabika yaagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bwe baatuuka mu kitundu ekiriraanye Yoludaani mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi n’ekitundu eky’ekika kya Manase, ne bazimba awo ekyoto, ekinene ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baatuuka ku lubalama lwa Yoludaani ebugwanjuba mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ekinene ennyo ekyewuunyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse, bwe baatuuka e Gelilooti, ekiriraanye Omugga Yorudaani mu nsi y'e Kanaani, ne bazimba awo alutaari ennene, esikiriza okulaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baatuuka mu nsi eriraanye Yoludaani, eri mu nsi ya Kanani, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne bazimba awo ekyoto ku Yoludaani, ekyoto ekinene ekitunuulirwa.