Joshua 22:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bwe baawulira nti bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse bazimbye omwaliiro e Geliloti, ku nsalo ne Kanaani, ku mugga Yorudani, naye ku ludda lwabwe olw'omugga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula abantu ba Isirayiri bwe baawulira nti bazimbye ekyoto ku Yoludaani ku luuyi lwa Isirayiri,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Isiraeri abalala, bwe bawulira abantu nga boogera nti, “Laba abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu kye kika kya Manase, bazimbye ekyoto ku nsalo ye nsi ya Kanani, mu kitundu ky'omugga Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Abayisirayeli abalala ne bawulira abantu nga bagamba nti: “Laba, ab'Ekika kya Rewubeeni, n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bazimbye alutaari e Gelilooti, ku ludda lwaffe olwa Yorudaani.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Isiraeri ne bawulira nga kyogerwa nti Laba, abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase bazimbye ekyoto ku muyegooyego ogw'ensi ya Kanani, mu nsi eriraanye Yoludaani, ku luuyi olw'abaana ba Isiraeri.