Joshua 22:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'ali n'abaami kkumi, omu omu ku lwa buli kika kya Yisirayeli, abakulu b'ennyumba za bajjajjaabwe, abo ku lw'ebika bya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne batumirako abakungu kkumi, omu omu omukulu w’ennyumba mu buli kika kya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu bika bya Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agenda n'abakulembeze kkumi, abaava mu buli kika kya Yisirayeli, era nga be bakulu b'ennyumba zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era awamu naye abakulu kkumi, buli kika kya Isiraeri omukulu omu ow'ennyumba ya bakitaabwe; buli omu yali mutwe gw'ennyumba za bakitaabwe mu nkumi za Isiraeri.