Joshua 22:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajja eri bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse, mu nsi ya Gileyaadi, ne babagamba nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe bajja eri Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekibiina kyonna ekya Manase mu nsi ya Gireyaadi ne babagamba nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja eri ab'Ekika kya Rewubeeni n'ab'Ekika kya Gaadi, n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse mu nsi y'e Gileyaadi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bajja eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase, mu nsi ya Gireyaadi, ne babagamba nti