Joshua 22:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekibiina ky'Omukama kyonna kino kye kyebuuza: ‘Bulyake nnabaki buno ne mumenya obwesigwa eri Omukama Katonda wa Yisirayeli, ne muva ku Mukama olwa leero nga mwezimbira omwaliiro, okumujeemera kaakati?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekibiina kyonna ekya Mukama bwe kiti bwe kigamba, ‘Muyinza mutya okukyama bwe muti okuva ku Mukama Katonda wa Isirayiri? Muyinza mutya okuva ku Mukama ne mwezimbira ekyoto ne mumujeemera awo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lwaki mwonoonye bwe mutyo mu maaso ga Mukama Katonda wa Isiraeri? Mukama mumujemedde nga mwezimbira ekyoto kino! mumuvuddeko, temukyamugoberera!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne boogerera ekibiina kya Mukama kyonna, ne babagamba nti: “Lwaki mukoze ekintu kino ekibi mu maaso ga Mukama Katonda wa Yisirayeli? Mujeemedde Mukama nga mwezimbira alutaari eno! Mumuvuddeko, temukyamugoberera!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kya Mukama kyonna bwe kyogera bwe kiti nti Kyonoono ki kino kye mwayonoona eri Katonda wa Isiraeri, okukyama leero obutagoberera Mukama kubanga mwezimbira ekyoto, okujeemera Mukama leero?