Joshua 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibi ky'e Pewori tekyatumalira, ekyo n'okutuusa ku lunaku lwa leero kye tutetukuzangako, newandibadde nga kyo ekibonerezo kyagwira ekibiina ky'Omukama?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibi kya Peoli tekyatumala, ate nga n’okwerongoosa tubadde tetunnaba kwerongoosa kwemalako kibi ekyo, wadde kawumpuli yagwa ku kibiina kya Mukama Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era twongere ku kibi kye twakolera e Peoli, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era twongere ku kibi kye twakolera e Peyori, kye tutannaba na kwenaazaako n'okutuusa kaakano, newaakubadde nga Mukama yasindika kawumpuli mu bantu be?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obubi bwa Peoli tebwatumala, bwe tutanneerongoosa okutuusa leero, newakubadde nga kawumpuli yajja ku kibiina kya Mukama,