Joshua 22:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati muumwo muva ku Mukama! Singa munaajeemera Omukama olwa leero, enkya Omukama ajja kusunguwalira ekibiina kyonna ekya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ate mmwe ne mulekeraawo okugoberera Mukama Katonda? Bwe munaajeemera Mukama leero, enkya ajja kunyiigira eggwanga lyonna erya Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Isiraeri kyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwagala kumuvaako leero? Singa mumujeemera olwa leero, enkya ajja kusunguwalira ekibiina kya Yisirayeli kyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mmwe okuwalirizibwa okukyama leero obutagoberera Mukama? era kubanga mujeemera Mukama leero, enkya n'alyoka asunguwalira ekibiina kyonaa ekya Isiraeri.