Joshua 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abagamba nti: “Mwatuukiriza n'obwesigwa byonna Musa omuweereza w'Omukama bye yabalagira, era buli lwe nabalagiranga, mwaŋŋonderanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abagamba nti, “Mwekuumye ne mukola byonna Musa omuweereza wa Mukama Katonda bye yabalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'abagamba nti, “Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'abagamba nti: “Mukoze byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira okukola, era muwulidde ebiragiro byange byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'abagamba nti Mukutte byonna Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira, era muwulidde eddoboozi lyange mu byonna bye nnabalagira: