Joshua 22:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'ekyokubiri ky'ekika kya Manasse ne baanukula abakulu b'ebika bya Yisirayeli nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika kya Manase ne balyoka baddamu abakulu b’ebika bya Isirayiri nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Lewubeeni, n'abaana ba Gaadi n'ekitundu ky'ekika kya Manase ne baddamu abakulu be nnyumba zaba Isiraeri abalala nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'Ekika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse ne baddamu abakulu b'ennyumba z'Abayisirayeli abalala nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'ekitundu eky'ekika kya Manase ne baddamu ne bagamba emitwe gy'enkumi za Isiraeri