Joshua 22:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ffe twakikoze lwa kutya nti olumu abaana bammwe bagenda kugamba abaffe nti: ‘Ate mmwe Omukama Katonda wa Yisirayeli mumwagaza ki?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nedda, twakikola mu kutya nti mu mirembe egijja abaana baffe balitubuuza nti, ‘ Mukama Katonda wa Isirayiri mumumanyiiko ki?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye twakikola kubanga twatya nti gye bujja abaana bammwe bayinza okubuuza abaana baffe nti, “Mulina nkolagana ki ne Mukama Katonda wa Isiraeri?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nedda! Twakikola kubanga twatya nti gye bujja, bazzukulu bammwe bandigamba abaffe nti: ‘Mulina nkolagana ki ne Mukama, Katonda wa Yisirayeli?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era singa tetwakola bwe tutyo olw'okwegendereza, nga tulowooza, nga twogera nti Mu biro ebigenda okujja abaana bammwe baliyinza okugamba abaana baffe nti Mmwe mulina ki ne Mukama, Katonda wa Isiraeri?