Joshua 22:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe bazzukulu ba Rubeni n'aba Gaadi, Omukama yassaawo ensalo wakati waffe nammwe, gwe mugga Yorudani. Awo nno mu Mukama temulinaamu mugabo.’ Bwe guba gutyo, abaana bammwe bagenda kuggya abaana baffe ku kutya Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama yakola Yoludaani okubeera ensalo wakati wammwe naffe mmwe Abalewubeeni, n’Abagaadi, temulina mugabo eri Mukama Katonda.’ Noolwekyo abaana bammwe bayinza okugaana abaana baffe okusinza Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama yafuula Yoludaani okuba ensalo wakati waffe nammwe abaana ba Lewubeeni n'aba Gaadi, n'olwekyo temulina mugabo eri Mukama. Bwe batyo abaana bammwe bandiziyiza abaana baffe okusinza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama yafuula Yorudaani ensalo wakati waffe nammwe Abarewubeeni n'Abagaadi. Temulina kye mugabana wa Mukama.’ Bwe batyo bazzukulu bammwe bandiresezzaayo bazzukulu baffe okusinza Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga Mukama yafuula Yoludaani ensalo wakati mu ffe nammwe, mmwe abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi; temulina mugabo mu Mukama: bwe batyo abaana bammwe bandiresezza abaana baffe okutya Mukama.