Joshua 22:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula gubeere obujulizi wakati waffe nammwe n'eri amazadde gaffe agalituddirira, nti tuli ba kusinzanga Omukama n'ebitambiro ebyokye, ebitone n'ebitambiro eby'okussa ekimu. Olwo gye bujja abaana bammwe baleme kugamba baana baffe nti: ‘Temulina mugabo mu Mukama.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye kibeere akabonero ak’obujulizi wakati waffe nammwe, era ne wakati we mirembe egirituddirira nti tugenda mu maaso ga Mukama Katonda ne tumusinza n’ebiweebwayo byaffe ebyokebwa ne ssaddaaka era n’ebiweebwayo olw’emirembe si kulwa nga abaana bammwe bagamba abaana baffe mu biseera ebijja nti, ‘Temulina mugabo gwonna eri Mukama Katonda.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe, n'ab'omu mirembe egiriddawo nti ddala tusinza Mukama era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'emirembe, gye bujja abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe nti, “Temulina mugabo eri Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye twagizimba, ebe obujulizi obulaga abantu baffe n'abammwe, era n'ab'omu mirembe egirituddirira nti ddala tusinza Mukama, era tuwaayo mu maaso ge ebiweebwayo olw'okutabagana, bazzukulu bammwe baleme kugamba bazzukulu baffe gye bujja nti: ‘Temulina kye mugabana wa Mukama.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye kiribeera mujulirwa wakati mu ffe nammwe, ne mu mirembe gyaffe egirituddirira, tulyoke tuweereze Mukama mu maaso ge n'ebyokye byaffe ne ssaddaaka zaffe n'ebyaffe ebiweebwayo olw'emirembe; abaana bammwe baleme okugamba abaana baffe mu biro ebigenda okujja nti Temulina mugabo mu Mukama.