Joshua 22:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne tugamba nti: ‘Bwe baliba ekyo bakitugambye oba nga bakigambye abaana baffe, tulibaanukula nti: “Mulabe ekifaananyi ky'omwaliiro gw'Omukama bajjajjaffe gwe baakola, nga si gwa kwokerako bitone oba okutambirirako, wabula ogw'okutujuliranga gye muli.” ’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyetwava tugamba nti, ‘Bwe balitugamba batyo oba okugamba abaana baffe abaliddawo, tulibaddamu nti, “Mulabe ekifaananyi kye kyoto kya Mukama Katonda, bakitaffe kye baakola, si lwa biweebwayo ebyokebwa wadde ssaddaaka, naye okubeera omujulirwa wakati waffe nammwe.” ’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tubaddamu nti, ekyo kye kyoto ekifaanana ekya Mukama, bajjajjaffe kye bazimba, si lwa byokye oba lwa ssaddaaka; naye kibeere obujulirwa wakati waffe nammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twalowooza nti bwe balitugamba bwe batyo, oba bwe baligamba bwe batyo bazzukulu baffe gye bujja, tuligamba nti: ‘Mulabe alutaari bajjajjaffe gye baakola ng'efaananira ddala alutaari ya Mukama. Baagikola, si lwa biweebwayo ebyokebwa, oba lwa bitambiro, naye ebe obujulizi wakati waffe nammwe.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyetwava twogera nti Bwe balitugamba bwe batyo ffe oba emirembe gyaffe mu biro ebigenda okujja, ne tulyoka twogera nti Laba ekifaananyi eky'ekyoto kya Mukama, bajjajjaffe kye baakola, si lwa byokye, so si lwa ssaddaaka; naye ye mujulirwa wakati mu ffe nammwe.