Joshua 22:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Finekasi kabona n'abakulu b'ebika by'Abayisirayeli bwe baawulira bazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'aba Manasse bye baayogera, ne basanyuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Finekaasi kabona, n’abakulu b’ebibiina by’ebika bya Isirayiri abaali naye bwe baawulira ebigambo Abalewubeeni, n’Abagaadi n’aba Manase bye bayogera, ne bibasanyusa nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Finekaasi kabona n'abakulembeze b'ennyumba za baana ba Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye bayogera, ne basanyuka nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Finehaasi kabona, n'abakulembeze b'ekibiina, abakulu b'ennyumba za Yisirayeli abaali naye, bwe baawulira ebigambo ab'omu Bika ekya Rewubeeni n'ekya Gaadi n'ekitundu ky'Ekika kya Manasse bye bagambye, ne basanyuka nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Finekaasi kabona n'abakulu b'ekibiina, gye mitwe gy'enkumi za Isiraeri abaali awamu naye, bwe baawulira ebigambo abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase bye boogera, ne basanyuka nnyo.