Joshua 22:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Finekasi mutabani we Eleyazari kabona, n'agamba abazzukulu ba Rubeni, aba Gaadi n'aba Manasse nti: “Kati tumanyi nti Omukama ali naffe, kubanga temwonoonye eri Mukama ne kye mukoze; muwonyezza Abayisirayeli mu mukono gw'Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n’agamba Abalewubeeni n’Abagaadi n’abaana ba Manase nti, “Leero tutegedde nti Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temukoze kivve kino eri Mukama Katonda, kaakano abantu ba Isirayiri mubawonyezza omukono gwa Mukama Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona n'agamba nti, “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera, muwonyezza Abaisiraeri okubonerezebwa Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abagamba nti: “Kaakano tutegedde nga Mukama ali wakati mu ffe, kubanga temwamujeemera. Muwonyezza Abayisirayeli okubonerezebwa Mukama.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona n'agamba abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi n'abaana ba Manase nti Leero tumanyi nga Mukama ali wakati mu ffe kubanga temwayonoona kyonoono ekyo eri Mukama: kaakano mubawonyezza abaana ba Isiraeri mu mukono gwa Mukama.