Joshua 22:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Finekasi, mutabani wa Eleyazari kabona, n'abakulembeze ne baleka bazzukulu ba Rubeni n'aba Gaadi mu Gileyaadi ne baddayo mu nsi y'e Kanaani eri Abayisirayeli, ne babategeeza bwe bibadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Finekaasi mutabani wa Eriyazaali kabona, n’abakulu b’ebika ne bava eri Abalewubeeni, n’Abagaadi mu nsi ye Kanani, ne baddayo eri abantu ba Isirayiri ne bababuulira ebibaddeyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo nga bava eri abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne baddayo, eri abaana ba Isiraeri ne babategeeza ebibaddewo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Finehaasi mutabani wa Eleyazaari kabona n'abakulembeze, ne bava mu nsi y'e Gileyaadi gye baasisinkanira Abarewubeeni n'Abagaadi, ne baddayo mu nsi y'e Kanaani eri Abayisirayeli, ne babategeeza ebibaddewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Finekaasi omwana wa Eriyazaali kabona, n'abakulu, ne bakomawo okuva eri abaana ba Lewubeeni n’abaana ba Gaadi, mu nsi ya Gireyaadi, ne bajja mu nsi ya Kanani, eri abaana ba Isiraeri, ne babaddiza ebigambo.