Joshua 22:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli bye baawulira ne bibasanyusa, ne batendereza Katonda; era tebaddayo kwogera ku kugenda kutabaala n'okuzikiriza ensi ab'ekika kya Rubeni ne Gaadi mwe baabeeranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bye baayogera ne bisanyusa abantu ba Isirayiri ne bagulumiza Katonda ne bataddayo kwogera ku bya lutalo kubalumba, bazikirize ensi Abalewubeeni, n’Abagaadi gye baali basenze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebigambo ebyo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku byakugenda kulwanyisa ba Lewubeeni n'aba Gaadi n'okuzikiriza ensi mwe babeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne basanyuka, ne batendereza Katonda, ne bataddayo kwogera ku bya kugenda kulwanyisa Barewubeeni na Bagaadi, n'okuzikiriza ensi mwe babeera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebigambo ne bisanyusa abaana ba Isiraeri; abaana ba Isiraeri ne batendereza Katonda, ne batayogera nate bigambo bya kulinnya okubalwanyisa, okuzikiriza ensi abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi mwe baali.