Joshua 22:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bazzukulu ba Rubeni n'aba Gaadi omwaliiro gwe baazimba ne bagutuuma 'Mujulirwa mu ffe nti Omukama ye Katonda'.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalewubeeni n’Abagaadi ne batuuma ekyoto erinnya Mujulizi, ne bagamba nti, “Kubanga mujulizi eri ffe nti Mukama ye Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne batuuma ekyoto ekyo erinnya Edi; ekitegeeza nti bwe bujjulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abarewubeeni n'Abagaadi ne batuuma alutaari eyo erinnya “Obujulizi”, nga bagamba nti: “Eno bwe bujulizi obutulaga nti Mukama ye Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Lewubeeni n'abaana ba Gaadi ne bayita ekyoto Edi: nti Ye mujulirwa wakati mu ffe nga Mukama ye Katonda.