Joshua 22:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, ng'Omukama Katonda wammwe bw'amaze okuwa baganda bammwe ekiwummulo nga bwe yabasuubiza, mweddireyo mu weema zammwe, mu nsi y'obutaka bwammwe Musa omuweereza w'Omukama gye yabawa emitala wa Yorudani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kaakano Mukama Katonda wammwe awadde baganda bammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. Noolwekyo muddeeyo mu maka gammwe mu nsi Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa ku luuyi luli olulala olwa Yoludaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba; kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano Mukama Katonda wammwe awadde Bayisirayeli bannammwe emirembe nga bwe yabasuubiza. N'olwekyo muddeeyo ewammwe mu kitundu Musa omuweereza wa Mukama kye yabawa okuba ekyammwe mu buvanjuba bwa Yorudaani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne kaakano Mukama Katonda wammwe awummuzizza baganda bammwe, nga bwe yabagamba: kale kaakano mukyuke muyingire mu weema zammwe (mugende) mu nsi ey'obutaka bwammwe, Musa omuweereza wa Mukama gye yabawa emitala wa Yoludaani.