Joshua 22:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mwekkaanye nnyo okutuusanga ekiragiro n'etteeka Musa omuweereza w'Omukama bye yabawa: okwagalanga Omukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukwatanga ebiragiro bye, okumunywererako, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna, n'omwoyo gwammwe gwonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula mwegendereze okukuumanga ebiragiro era n’amateeka Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, okukuumanga ebiragiro bye, n’okumunywererangako era n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna era n’emmeeme yammwe yonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutuukirizenga bulungi amateeka n'ebiragiro, Musa omuweereza wa Mukama bye yabalagira: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okukolanga byonna by'ayagala, n'okukwatanga amateeka ge, n'okubeeranga abeesigwa gy'ali, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mwekuumenga nnyo okukwatanga ekiragiro n'etteeka, Musa omuweereza wa Mukama lye yabalagira, okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n'okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okukwatanga amateeka ge, n'okwegattanga naye, n'okumuweerezanga n'omutima gwammwe gwonna era n'emmeeme yammwe yonna.