Joshua 22:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyokubiri eky'ekika kya Manasse Musa yali akiwadde ekitundu kyakyo mu Basani; ekyokubiri ekirala eky'ekika Yoswa n'akikubira akalulu, ne bafuna mu baganda baabwe emitala wa Yorudani, ku ludda olw'ebugwanjuba. Bwe yali abasiibula baddeyo mu weema zaabwe, yabawa omukisa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitundu ekimu eky’ekika kya Manase, Musa yali akigabidde ettaka mu Basani, n’ekitundu ekirala eky’ekika kya Manase ne baganda baabwe, Yoswa n’akiwa ettaka ku luuyi olw’ebugwanjuba bwa Yoludaani. Yoswa n’abawa omukisa n’abasiibula baddeyo ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani; naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba. Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekitundu ekimu eky'Ekika kya Manasse, Musa yali akiwadde ettaka mu Basani ku ludda lw'ebuvanjuba bwa Yorudaani, ate ekitundu ekirala Yoswa ng'akiwadde ku ludda Olw'ebugwanjuba bwa Yorudaani, wamu n'ebika ebirala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ekitundu ekimu eky'ekika kya Manase Musa yakiwa (obusika) mu Basani: naye ekitundu eky'okubiri Yoswa n'akiwa mu baganda baabwe emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebugwanjuba: Era Yoswa bwe yabasindika mu weema zaabwe, n'abasabira omukisa,